1 John 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyo kye twalaba, kye twawulira, kye tubabuulira, mulyoke mubeere kimu naffe; anti tuli kimu ne Taata n'Omwana we Yezu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tubategeeza ekyo kye twawulira era kye twalaba, mulyoke mutwegatteko, mubeere bumu naffe, era mussekimu ne Kitaffe awamu n’Omwana we Yesu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kye twalaba ne tuwulira, kye tubabuulira nammwe, nammwe mulyoke musse ekimu naffe; era naye okussa ekimu kwaffe kuli ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye twalaba, era kye twawulira, kye tubategeeza, nammwe mulyoke mutwegatteko mu kussa ekimu ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kye twalaba ne tuwulira, kye tubabuulira nammwe, nammwe mulyoke musse ekimu naffe; era naye okussa ekimu kwaffe kuli ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo;