1 John 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buno bwe bubaka bwe twawulira okuva gy'ali, era bwe tubabuulira, nti Katonda kitangaala, mu ye temuli kizikiza n'akatono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye temuli kizikiza n'akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bigambo bye, bye twawulira era bye tubategeeza mmwe nti Katonda kye kitangaala, era mu ye temuli kizikiza n'akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye ekizikiza temuli n'akatono.