1 John 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye bwe tutambulira mu kitangaala, nga ye bw'ali mu kitangaala, olwo tuba tuli kimu, n'omusaayi gwa Yezu Omwana we gututukuzaako ebibi byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe tutambulira mu musana, nga ye bw'ali mu musana, tussa kimu fekka na fekka, n'omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe tutambulira mu kitangaala, nga naye bw'ali mu kitangaala, tussa kimu ffenna, era omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako buli kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe tutambulira mu musana, nga ye bw'ali mu musana; tussa kimu fekka na fekka, n'omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna.