1 John 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuufu, ajja kusonyiwa ebibi byaffe, atutukuzeeko buli butali butuukirivu bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe twatula ebibi byaffe, ye mwesigwa era mutuukirivu okutusonyiwa n’okutunaazaako obutali butuukirivu bwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe twatula ebibi byaffe, Katonda omwesigwa era omutuukirivu abitusonyiwa, era atunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.