1 John 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oli akyawa muganda we, ali mu kizikiza, era mu kizikiza mw'atambulira, era tamanyi na gy'agenda, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka oyo akyawa owooluganda, aba akyali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw’atambulira, nga tategeera gy’alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka akyawa muntu munne, ali mu kizikiza, era mu kizikiza ekyo mw'atambulira, nga tamanyi gy'alaga, kubanga ekizikiza kimuzibye amaaso.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye akyawa muganda we ali mu kizikiza, era atambulira mu kizikiza, so nga tamanyi gy'agenda, kubanga ekizikiza kyamuziba amaaso.