1 John 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbawandiikira, mmwe abazadde abasajja, kubanga mumumanyi oyo aliwo okuva mu masooka. Mbawandiikira, mmwe abalenzi abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikira, mmwe abato, kubanga mumanyi Taata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nammwe abakulu, mbawandiikidde kubanga mwamutegeera okuva ku lubereberye. Nammwe abavubuka, mbawandiikidde kubanga muwangudde omubi. Mmwe abaana abaagalwa bawandiikidde, kubanga mutegedde Kitaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbawandiikira mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikira mmwe, abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikidde mmwe, abaana abato kubanga mutegedde Kitaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbawandiikira mmwe abakulu, kubanga mumanyi oyo eyabaawo okuviira ddala olubereberye. Mbawandiikira mmwe abavubuka, kubanga muwangudde Omubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbawandiikira mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikira mmwe, abavubuka, kubanga muwangudde omubi. Mbawandiikidde mmwe, abaana abato, kubanga mutegedde Kitaffe.