1 John 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbawandiikira, mmwe abazadde abasajja, kubanga mumanyi oyo aliwo okuva mu masooka. Mbawandiikira, mmwe abalenzi abavubuka, kubanga muli ba maanyi, n'ekigambo kya Katonda kiri mu mmwe, n'omubi mumuwangudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbawandiikidde mmwe abakulu kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe abavubuka kubanga muli ba maanyi era n’ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mbawandiikidde mmwe abaana abato, kubanga mumanyi Kitaffe. Mbawandiikidde mmwe abakulu, kubanga mumanyi oyo eyabaawo okuviira ddala olubereberye. Mbawandiikidde mmwe abavubuka, kubanga muli ba maanyi, n'ekigambo kya Katonda kibalimu, era muwangudde Omubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbawandiikidde mmwe, abakadde, kubanga mutegedde oyo eyabaawo okuva ku lubereberye. Mbawandiikidde mmwe, abavubuka, kubanga mulina amaanyi, n'ekigambo kya Katonda kibeera mu mmwe, era muwangudde omubi.