1 John 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga byonna ebiri mu nsi: amaddu g'omubiri, amaddu g'okulaba n'olunkulu lw'okufuna, si bya Taata, wabula bya nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga buli eky’ensi: okwegomba kw’omubiri, n’okwegomba kw’amaaso, n’okwekuluntaza okw’obulamu, si bya Kitaffe, naye bya nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga buli ekiri mu nsi–okwegomba okw'omubiri, n'okwegomba okw'amaaso, n'okwegulumiza okw'obulamu buno–ebyo tebiva eri Kitaffe, naye biva mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli ekiri mu nsi, okwegomba kw'omubiri, n'okwegomba kw'amaaso, n'okwegulumiza kw'obulamu okutaliimu, tebiva eri Kitaffe, naye biva eri ensi.