1 John 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi yo eyita, wamu n'amaddu gaayo; naye oyo akola Katonda ky'ayagala asigalawo emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi n’okwegomba kwayo byonna biggwaawo, naye buli akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi eggwaawo n'okwegomba kwayo, naye akola Katonda by'ayagala, abeerawo emirembe n'emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ensi eggwaawo, n'okwegomba kwayo; naye akola Katonda by'ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.