1 John 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana, kano ke kaseera akavannyuma; mwawulira nti omulabe wa Kristu ajja; kati nno abalabe ba Kristu bangi bazze; bwe tutyo tumanyi nti ke kaseera akavannyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baana bange, ekiseera ekisembayo kituuse. Mwategeezebwa ng’Omulabe wa Kristo bw’agenda okujja, era ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi, era kwe tutegeerera ng’ekiseera ekisembayo kituuse.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana abato, kye kiseera eky'enkomerero, era nga bwe mwawulira ng'omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky'enkomerero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baana bange, ekiseera eky'enkomerero kituuse. Era nga bwe mwawulira nti omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi. Ku kino kwe tumanyira nga ekiseera eky'enkomerero kituuse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana abato, kye kiseera eky'enkomerero, era nga bwe mwawulira ng'omulabe wa Kristo ajja, ne kaakano waliwo abalabe ba Kristo bangi; kyetuva tutegeera nga kye kiseera eky'enkomerero.