1 John 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baatuvaamu ne bagenda, naye tebaali baffe, kubanga singa baali baffe, bandisigadde naffe, kiryoke kyeyoleke lwatu nti si baali baffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abo tebaali baffe ddala, era kyebaava batwawukanako, kubanga singa baali baffe ddala bandisigalidde ddala mu ffe. Naye baatuvaako kiryoke kitegeerekekere ddala nga bonna si b’ewaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baava mu ffe, naye tebaali b'ewaffe; kuba singa baali b'ewaffe, bandibadde wamu naffe; naye baatuvaamu era balabisibwe bonna nga si b'ewaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abo baava mu ffe, naye tebaali baffe. Singa baali baffe, bandibadde basigala naffe. Naye baatuvaamu, balyoke balabikire ddala nti tewali n'omu ku bo eyali owaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baava mu ffe, naye tebaali b'ewaffe; kuba singa baali b'ewaffe, bandibadde wamu naffe; naye baatuvaamu era balabisibwe bonna nga si b'ewaffe.