1 John 2:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ani mulimba wabula okuggyako oyo agaana nti Yezu si ye Kristu? Oyo ye mulabe wa Kristu, oyo agaana Taata ne Mwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulimba y’ani, wabula oyo agamba nti Yesu si ye Kristo. Omuntu oyo yennyini ye Mulabe wa Kristo, era oyo takkiririza Kitaffe wadde Omwana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulimba ye ani, si oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulimba ye ani? Si ye oyo agamba nti Yesu si ye Kristo? Oyo eyeegaana Kitaffe ne Mwana, ye mulabe wa Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulimba ye ani wabula oyo agaana nga Yesu si ye Kristo? Oyo ye mulabe wa Kristo, agaana Kitaffe n'Omwana.