1 John 2:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kye mwawulira okuva mu masooka kisigale mu mmwe. Kye mwawulira okuva mu masooka bwe kisigala mu mmwe, olwo nammwe mujja kusigala mu Mwana ne mu Taata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekituufu kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Bwe munaakuumanga ekyo kye mwawulira okuva ku lubereberye, Omwana awamu ne Kitaffe banaabeeranga wamu nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe kye mwawulira okuva olubereberye, kibeerenga mu mmwe. Ekyo kye mwawulira okuva olubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, olwo nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe kye mwawulira okuva ku lubereberye kibeerenga mu mmwe. Kye mwawulira okuva ku lubereberye bwe kinaabeeranga mu mmwe, nammwe munaabeeranga mu Mwana ne mu Kitaffe.