1 John 2:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye okusiigibwa kwe mwafuna okuva gy'ali kwabasigalamu, temwetaaga muntu kubayigiriza; byonna okusiigibwa bye kwabayigiriza bya mazima, si bulimba; musigale mu ye nga bwe kwabayigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka okufukibwako amafuta kwe mwafuna okuva gy’ali kwali mu mmwe, noolwekyo temwetaaga muntu kubayigiriza. Wabula Mwoyo Mutukuvu y’abayigiriza buli kimu, era w’amazima si wa bulimba, kale mubeerenga mu ye nga bwe yabayigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa okuva gyali kubeera mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye okufuukibwako amafuta kwe, kwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa mazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe, Mwoyo Mutuukirivu, Kristo gwe yabagabira, ali mu mmwe. N'olwekyo temwetaaga muntu n'omu okubayigiriza kubanga Mwoyo we abayigiriza byonna era wa mazima, si wa bulimba. Kale mubeerenga mu Kristo, nga Mwoyo bwe yabayigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe okufukibwako amafuta kwe mwaweebwa ye kubeera mu mmwe, so temwetaaga muntu yenna okubayigirizanga; naye ng'okufuka kwe okw'amafuta bwe kubayigiriza mu bigambo byonna, era kwa mazima so si bulimba, era nga bwe kwabayigiriza, mubeerenga mu ye.