1 John 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye buli akwata ekigambo kye, mu ye okwagala kubeera kutuukiriridde ddala; kuno kwe tutegeerera nti tuli mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye buli agondera ekigambo kye, ddala ng’okwagala kwa Katonda kutuukiridde mu muntu oyo. Era ekyo kye kitukakasisa nti tuli mu ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli atuukiriza ekigambo kya Katonda, ddala y'aba n'okwagala Katonda okutuukiridde. Ku kino kwe tumanyira nga tuli mu ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutuukirizibwa mu oyo. Ku kino kwe tutegeerera nga tuli mu ye: