1 John 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ate mbawandiikira kiragiro kiggya, kino kituufu ku ye era ne ku mmwe, kubanga ekizikiza kiyise ate ekitangaala ekituufu kyatandise dda okwaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka nno ekiragiro kino kye mbawandiikira kiggya era kikakasirizibwa mu ye ne mu mmwe. Kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo era omusana ogw’amazima kaakano gwaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate mbawandiikira ekiragiro ekiggya, ekigambo eky'amazima mu ye ne mu mmwe; kubanga ekizikiza kiggwaawo, n'omusana ogw'amazima kaakano gwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye era ekiragiro kye mbawandiikira kiggya, era amazima gaakyo galabikira mu Kristo ne mu mmwe, kubanga ekizikiza kigenda kiggwaawo, era ekitangaala kyennyini kaakano kyaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate mbawandiikira ekiragiro ekiggya, ekigambo eky'amazima mu ye ne mu mmwe; kubanga ekizikiza kiggwaawo, n'omusana ogw'amazima kaakano gwaka.