1 John 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe okwagala Taata kwe yatwagalamu nga bwe kuli, bwe yatuwa okuyitibwa abaana ba Katonda, ate ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva tetumanya kubanga naye teyamumanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulabe okwagala Katonda kw’atwagala bwe kuli okunene ennyo, n’atuyita abaana be, era ddala bwe tutyo bwe tuli. Ensi kyeva eremwa okututegeera, kubanga naye yennyini teyamutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulabe okwagala bwe kuli okunene Kitaffe kwe yatuwa, ffe okuyitibwanga abaana ba Katonda; era bwe tuli. Ensi kyeva erema okututegeera, kubanga teyamutegeera ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe Kitaffe bwe yatwagala ne tuyitibwa abaana ba Katonda, era ddala bwe tuli. Ensi kyeva tetumanya, kubanga naye teyamumanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulabe okwagala bwe kuli okunene Kitaffe kwe yatuwa, ffe okuyitibwanga abaana ba Katonda; era bwe tuli. Ensi kyeva erema okututegeera, kubanga teyamutegeera ye.