1 John 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
si nga Kayini eyali ow'omubi, eyatemula muganda we. Yamutemulira ki? Lwa kubeera ng'ebikolwa ebibye byali bibi, sso ng'ebya muganda we bituukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
si nga Kayini eyali owa Setaani, n’atta muganda we. Kale yamuttira ki? Kayini yatta muganda we kubanga Kayini yakola ebibi, so nga ye muganda we yakola eby’obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
si nga Kayini bwe yali ow'omubi n'atta muganda we. Era yamuttira ki? Kubanga ebikolwa bye byali bibi, n'ebya muganda we bituukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tuteekwa obutaba nga Kayini eyali ow'Omubi, n'atemula muganda we. Era yamutemulira ki? Yamutemula, kubanga ebikolwa ebibye byali bibi, ebya muganda we nga birungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
si nga Kayini bwe yali ow'omubi n'atta muganda we. Era yamuttira ki? kubanga ebikolwa bye byali bibi n'ebya muganda we bituukirivu.