1 John 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye singa oli aweza ku bintu by'ensi alaba muganda we ng'ali mu bwetaavu, naye n'atamussaako mwoyo, okwagala kwa Katonda kumubeeramu kutya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli alina ebintu eby’omu nsi n’alaba muganda we nga yeetaaga, naye n’abulwako ky’amuwa, okwagala kwa Katonda, kuyinza kutya okuba mu ye?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye buli alina eby'obugagga eby'omu nsi, n'atunuulira muganda we nga yeetaaga, n'amuggalirawo emmeeme ye, okwagala kwa Katonda kubeera kutya mu ye?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omuntu alina ebyobugagga obw'oku nsi n'alaba muntu munne ng'ali mu bwetaavu, n'atamuyamba, ayinza atya okugamba nti ayagala Katonda?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye buli alina ebintu eby'omu nsi, n'atunuulira muganda we nga yeetaaga, n'amuggalirawo emmeeme ye, okwagala kwa Katonda kubeera kutya mu ye?