1 John 3:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne buli kye tusaba tujja kukifuna okuva gy'ali, kubanga tukwata ebiragiro bye ne tukola ekimusanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tugondera ebiragiro bye, era ne tukola ebimusanyusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era buli kye tumusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye, era tukola ebimusanyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge.