1 John 3:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli akwata ebiragiro bye abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye. Kuno kwe tumanyira nti abeera mu ffe: Mwoyo gwe yatuwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale oyo agondera ebiragiro bye abeera mu Ye, era naye abeera mu ye. Kino tukimanyi ng’ali mu ffe, kubanga Mwoyo Mutukuvu gwe yatuwa abeera mu ffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era akwata ebiragiro bye abeera mu ye, naye mu ye. Era ku kino kwe tutegeerera ng'abeera mu ffe, olw'Omwoyo gwe yatuwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abakwata ebiragiro bya Katonda babeera mu Katonda, ne Katonda n'abeera mu bo. Era kwe tumanyira ng'ali mu ffe, ye Mwoyo gwe yatuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era akwata ebiragiro bye abeera mu ye, naye mu ye. Era ku kino kwe tutegeerera ng'abeera mu ffe, olw'Omwoyo gwe yatuwa.