1 John 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ali mu ye takola kibi; buli akola ekibi aba teyamulaba oba nga teyamumanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era tewali n’omu abeera mu ye ate ne yeeyongera okukola ekibi. Wabula oyo eyeeyongera okukola ekibi tamutegeeranga, era tamumanyi n’akatono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu yenna abeera mu ye takola kibi; buli muntu yenna akola ekibi nga tamulabangako, so tamutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu abeera mu ye, takola kibi. Buli akola ekibi, oyo talabanga era tamanyanga Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu yenna abeera mu ye takola kibi: buli muntu yenna akola ekibi nga tamulabangako, so tamutegeera.