1 John 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli azaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ya Katonda emubeeramu; tasobola kwonoona, kubanga yazaalibwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tewali afuuka mwana wa Katonda ate ne yeeyongera okukola ekibi, kubanga ensigo ya Katonda ebeera mu ye, so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ye ebeera mu ye; so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga obulamu bwa Katonda buba buli mu ye. Tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ye ebeera mu ye; so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.