1 John 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaagalwa, temukkiririza mu buli mwoyo; wabula emyoyo mugigeze mulabe oba gya Katonda; kubanga abalanzi ab'obulimba bavuddeyo bangi mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaagalwa, temukkirizanga buli myoyo, naye musookenga okugyetegereza mulabe obanga givudde eri Katonda, kubanga kaakano waliwo bannabbi ab’obulimba bangi mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda; kubanga bannabbi ab'obulimba bangi abafuluma mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mugezenga emyoyo, mulabe oba nga giva eri Katonda, kubanga abalanzi ab'obulimba bangi basaasaanye ne bajja mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaagalwa, temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab'obulimba bangi abafuluma mu nsi.