1 John 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kino mwe muli okwagala: si ffe twayagala Katonda, wabula nti ye ye yatwagala, n'alyoka atuma Omwana we abeere omutango gw'ebibi byaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kino mwe tutegeerera ddala okwagala kwennyini, kubanga teyakikola lwa kuba nti ffe twali twagala Katonda, naye ye yennyini ye yatwagala, n’awaayo Omwana we ng’omutango olw’ebibi byaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kino mwe muli okwagala: si kugamba nti ffe twayagala Katonda, wabula ye yatwagala, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kino mwe muli okwagala, so si nga ffe twayagala Katonda, naye nga ye yatwagala ffe, n'atuma Omwana we okuba omutango olw'ebibi byaffe.