1 John 4:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali yali alabye Katonda; naye singa twagalana, Katonda abeera mu ffe, n'okwagala kwe kutuukirira mu ffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali n’omu eyali alabye ku Katonda, naye bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n’okwagala kwe ne kulabikira mu ffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n'okwagala kwe nga kutuukiridde mu ffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali yali alabye Katonda; kyokka bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, era okwagala kwe kuba kutuukiridde mu ffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna: bwe twagalana, Katonda abeera mu ffe, n'okwagala kwe nga kutuukiridde mu ffe: