1 John 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twamanya era ne tukkiriza okwagala Katonda kw'atwagalamu. Katonda kwagala, buli ayagala abeera mu Katonda, ne Katonda n'abeera mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ffe tumanyi okwagala kwa Katonda era tukkiririza mu kwagala kwe okwo kw’alina gye tuli. Katonda kwagala, era buli abeera n’okwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate twategeera era twakkiriza okwagala Katonda kw'alina gyetuli. Katonda kwagala; n'oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ffe tumanyi era tukkiriza okwagala Katonda kw'atwagalamu. Katonda kwe kwagala, era oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate twategeera era twakkiriza okwagala Katonda kw'alina gye tuli. Katonda kwagala; n'oyo abeera mu kwagala abeera mu Katonda, ne Katonda abeera mu ye.