1 John 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa oli agamba nti: “Katonda mmwagala,” naye n'akyawa muganda we, aba mulimba; kubanga oyo atayagala muganda we gw'alabyeko, tasobola kwagala Katonda gw'atalabanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna bw’agamba nti, “Njagala Katonda,” naye n’akyawa muganda we, omuntu oyo mulimba. Kubanga buli atayagala muganda we gw’alabako, tasobola kwagala Katonda gw’atalabangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'ayogera nti, “Njagala Katonda,” n'akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw'atalabangako tayinza kumwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'agamba nti: “Njagala Katonda”, ate n'akyawa muntu munne, aba mulimba, kubanga atayagala muntu munne gwe yali alabyeko, tayinza kwagala Katonda gw'atalabangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'ayogera nti Njagala Katonda, n'akyawa muganda we, mulimba; kubanga atayagala muganda we gwe yali alabyeko, Katonda gw'atalabangako tayinza kumwagala.