1 John 4:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiragiro kino kyatuweebwa ye, nti oyo ayagala Katonda asaana ayagale ne muganda we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Katonda yennyini yatulagira nti, “Buli ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tulina ekiragiro kino ekyava gy'ali, ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era tulina ekiragiro kino kye yatuwa nti: ayagala Katonda, ayagalenga ne muntu munne.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tulina ekiragiro kino ekyava gy'ali, ayagala Katonda ayagalenga ne muganda we.