1 John 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate buli mwoyo ogutaatula Yezu, si gwa Katonda; guno gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristu, gwe mwawulirako nti ajja, kati yajja na dda mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo ogw’Omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nti ajja mu nsi, era amaze okutuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda; era ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja, era kaakano gumaze okuba mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu agaana okwatula ekyo ku Yesu Kristo, talina mwoyo guvudde eri Katonda. Ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo. Mwawulira nti gujja, era kaakano gwatuuka dda mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
na buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguvudde eri Katonda: era ogwo gwe mwoyo gw'omulabe wa Kristo, gwe mwawulira nga gujja, era kaakano gumaze okuba mu nsi.