1 John 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tuli ba Katonda. Buli amanyi Katonda atuwuliriza, naye atali wa Katonda tatuwuliriza. Kuno kwe tumanyira omwoyo ogw'amazima n'omwoyo omusobi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ffe tuli bantu ba Katonda, era buli amanyi Katonda atuwuliriza; atali wa Katonda tatuwuliriza. Eyo y’engeri gye tusobola okwawulamu omwoyo ogw’amazima n’omwoyo ogw’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ffe tuli ba Katonda, ategeera Katonda atuwulira ffe; atali wa Katonda tatuwulira. Ku ekyo kwe tutegeerera omwoyo ogw'amazima n'omwoyo ogw'obukyamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe tuli ba Katonda. Amanyi Katonda, atuwuliriza. Atali wa Katonda, tatuwuliriza. Ku ekyo kwe tumanyira omwoyo ogw'amazima n'omwoyo ogw'obukyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ffe tuli ba Katonda: ategeera Katonda atuwulira ffe; atali wa Katonda tatuwulira. Ku ekyo kwe tutegeerera omwoyo ogw’amazima n'omwoyo ogw'Obukyamu.