1 John 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaagalwa, twagalane; anti okwagala kuva wa Katonda, na buli ayagala aba azaaliddwa Katonda era amanyi Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli alina okwagala mwana wa Katonda, era amanyi Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagalwa, twagalanenga, kubanga okwagala kuva eri Katonda, era buli muntu alina okwagala, yazaalibwa Katonda, era amanyi Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaagalwa, twagalanenga: kubanga okwagala kuva eri Katonda; na buli muntu yenna ayagala yazaalibwa Katonda era ategeera Katonda.