1 John 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kino okwagala kwa Katonda mwe kwayolekerwa mu ffe, nti yatuma Omwana we omu yekka, tulyoke tubeere balamu mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda yatulaga okwagala kwe, bwe yatuma mu nsi Omwana we omu yekka bw’ati, tulyoke tube abalamu ku bw’oyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gyetuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw'oyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku kino Katonda kwe yalagira bw'atwagala: yatuma mu nsi Omwana we omu yekka, tulyoke tube balamu ku bw'oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku kino okwagala kwa Katonda kwe kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu tulyoke tube abalamu ku bw'oyo.