1 John 5:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli akkiriza nti Yezu ye Kristu aba mwana wa Katonda, ate ayagala omuzadde ayagala ne gw'azaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli akkiriza nti Yesu ye Kristo, oyo aba mwana wa Katonda, era buli ayagala kitaawe w’omwana ayagala n’omwana we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu yenna akkiriza nga Yesu ye Kristo, ng'azaaliddwa Katonda, na buli ayagala eyazaala ayagala n'oyo gwe yazaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli akkiriza nga Yesu ye Kristo, aba mwana wa Katonda, era buli ayagala omuzadde, ayagala n'omwana w'omuzadde oyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu yenna akkiriza nga Yesu ye Kristo, ng'azaaliddwa Katonda: na buli ayagala eyazaala ayagala n'oyo gwe yazaala.