1 John 5:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akkiriza Omwana wa Katonda alina obukakafu obwo mu ye. Oyo atakkiriza, Katonda amufudde mulimba, kubanga takkiriza bukakafu Katonda bwe yawa ku Mwana we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale buli akkiririza mu Mwana wa Katonda akyetegeezeza ddala ye yennyini. Oyo atakkiririza mu Katonda ng’amufudde mulimba, kubanga takkiriza ekyo Katonda ky’ayogera ku Mwana we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng'amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw'ategeezezza eby'Omwana we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akkiriza Omwana wa Katonda, aba n'okukakasa okwo. Atakkiriza, afuula Katonda okuba omulimba, kubanga aba takkiriza ebyo Katonda by'akakasa ku Mwana we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akkiriza Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu ye; atakkiriza Katonda ng'amufudde mulimba; kubanga takkiriza kutegeeza Katonda kw'ategeezezza eby'Omwana we.