1 John 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa oli alaba muganda we ng'akola ekibi ekitali kya lumbe, asabenga, ne Katonda alimuwa obulamu ku lw'abo ekibi kyabwe ekitali kya lumbe. Waliwo ekibi eky'olumbe, sigamba nti oli yandisabye ku kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna bw’alaba muganda we ng’agudde mu kibi ekitali kya kufa, amusabirenga, Katonda talirema kumuwa bulamu. Njogera ku abo bokka abagwa mu kibi ekitali kya kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna bw'alabanga muganda we ng'akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky'okufa; ekyo si kye njogerako okukisabiranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu bw'alabanga muntu munne ng'akola ekibi ekitaamuleetere kufa, asabenga Katonda awe munne oyo obulamu. Kino kikwata ku abo abakola ekibi ekitaleeta kufa. Waliwo ekibi ekireeta okufa. Ekyo si kye njogerako bwe ŋŋamba okusabanga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna bw'alabanga muganda we ng'akola ekibi ekitali kya kufa, anaasabanga, ne Katonda anaamuweeranga obulamu abo abakola ekibi ekitali kya kufa. Waliwo ekibi eky'okufa: ekyo si kye njogerako okukyegayiririranga