1 John 5:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era tumanyi nti Omwana wa Katonda yajja era n'atuwa okutegeera, tulyoke tumanye oyo omutuufu; ffe tuli mw'oyo omutuufu, mu Mwana we Yezu Kristu. Ono ye Katonda omutuufu era obulamu obutaggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era tumanyi ng’Omwana wa Katonda yajja mu nsi, n’atuwa okutegeera tumanye Katonda ow’amazima, era tuli mu oyo Katonda ow’amazima, ne mu Yesu Kristo Omwana we. Oyo ye Katonda ow’amazima n’obulamu obutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeera ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era tumanyi ng'Omwana wa Katonda yajja n'atuwa okutegeera, tumanye Katonda ow'amazima; era tuli mu Oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, era bwe bulamu obutaggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tumanyi nga Omwana wa Katonda yajja n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeera ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo ye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutaggwaawo.