1 John 5:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba tukkiriza abantu kye boogera, Katonda ky'ayogera kikirira wala; kubanga kino Katonda kye yayogera, kye yakakasa ku mwana we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obanga tukkiriza obujulirwa bw’abantu, obujulirwa bwa Katonda tusaana okubukkiriza ennyo n’okusingawo, kubanga bwe businga obukulu ng’ategeeza ku Mwana we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe tukkiriza okutegeeza kw'abantu, okutegeeza kwa Katonda kwe kusinga obukulu, kubanga okutegeeza kwa Katonda kwe kuno nti ategeezezza eby'Omwana we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oba nga tukkiriza abantu bye bakakasa, ebyo Katonda by'akakasa bye bisinga obukulu. Katonda by'akakasa bifa ku Mwana we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe tukkiriza okutegeeza kw'abantu, okutegeeza kwa Katonda kwe kusinga obukulu: kubanga okutegeeza kwa Katonda kwe kuno nti ategeezezza eby'Omwana we.