1 Kings 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Natani n'agamba Batuseba nnyina Solomoni nti: “Owulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggiti bw'afuuse kabaka, nga mukama waffe Dawudi takimanyi nako?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Nasani n’agenda eri Basuseba nnyina Sulemaani n’amugamba nti, “Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nasani n'agamba Basuseba nnyina Sulemaani ng'amubuuza nti Owulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi bw'alidde obwakabaka nga Dawudi mukama waffe nga takimanyi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Natani omulanzi n'agamba Batuseba nnyina Solomooni nti: “Towulidde Adoniya mutabani wa muggya wo Haggiti bwe yeefudde kabaka, nga mukama waffe Dawudi tamanyi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nasani n'agamba Basuseba nnyina Sulemaani ng'ayogera nti Towulidde nga Adoniya mutabani wa Kaggisi alidde obwakabaka, Dawudi mukama waffe nga takimanyi?