1 Kings 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno gano ge magezi ge nkuwa okuwonya obulamu bwo n'obwa mutabani wo Solomoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno kankuwe amagezi, owonye obulamu bwo n’obwa mutabani wo Sulemaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nkwegayiridde, jjangu nkuwe amagezi, owonye obulamu bwo ggwe n'obulamu bwa mutabani wo Sulemaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano okusobola okuwonya obulamu bwo n'obwa mutabani wo, nkuwa amagezi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno jjangu, nkwegayiridde, nkuwe amagezi, owonye obulamu bwo ggwe n'obulamu bwa mutabani wo Sulemaani.