1 Kings 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yingira ewa kabaka Dawudi omugambe nti: ‘Mukama wange kabaka, si ggwe walayirira omuzaana wo nze, n'ogamba nti: “Solomoni mutabani wo y'alinsikira ku bwa kabaka, yennyini y'alituula ku nnamulondo yange?” Lwaki ate Adoniya afuuse kabaka?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Genda eri Kabaka Dawudi, omugambe nti, ‘Mukama wange Kabaka, tewalayirira muzaana wo nti, Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka? Kale lwaki Adoniya alidde obwakabaka?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Genda eri kabaka Dawudi, omubuuze nti Mukama wange, ayi kabaka, tewandayirira nze muzaana wo nti mutabani wange Sulemaani yalirya obwakabaka ggwe ng'ovuddewo era nga yalituula ku ntebe yo? Kale ate Adoniya afuna atya obwakabaka?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ogende mangu eri Kabaka Dawudi, omugambe nti: ‘Mukama wange kabaka, tewandayirira nze omuzaana wo, nti mutabani wange Solomooni ye alikusikira, era ye alituula ku ntebe yo ey'obwakabaka ng'ovuddewo? Kale ate Adoniya afuuse atya kabaka?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Genda oyingire eri kabaka Dawudi, omugambe nti Mukama wange, ai kabaka, tewalayirira muzaana wo nti Sulemaani mutabani wo talirema kulya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange? kale kiki ekimuliisizza obwakabaka Adoniya?