1 Kings 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batuseba n'ayingira ewa kabaka gy'asula; kabaka yali akaddiye nnyo. Abisagi ow'e Sunemu yali awo ng'amujjanjaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Basuseba n’agenda eri Kabaka, mu kisenge kye, era Kabaka yali mukadde nnyo nga Abisaagi Omusunammu amuweereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Basuseba n'ayingira eri kabaka mu kisenge: kabaka yali akaddiye nnyo; nga Abisaagi Omusunammu nga yamuweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Betuseba n'agenda eri kabaka mu kisenge. Kabaka yali akaddiye nnyo, era nga Abisaagi, omuwala eyava e Sunemu, ye amulabirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Basuseba n'ayingira eri kabaka mu kisenge: era kabaka yali mukadde nnyo; ne Abisaagi Omusunammu yaweerezanga kabaka.