1 Kings 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayanukula nti: “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo, ng'olayira Omukama Katonda wo nti: ‘Solomoni mutabani wo y'alinsikira ku bwakabaka, yennyini y'alituula ku nnamulondo yange;’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Mukama wange, ggwe walayirira omuzaana wo eri Mukama Katonda wo nti, ‘Sulemaani mutabani wo y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era y’alituula ku ntebe yange ey’obwakabaka.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Basuseba n'addamu nti Mukama wange nze omuzaana wo, wandayirira nti mutabani wange Sulemaani yalikusikira, era nga yalituula ku ntebe yo ey'obwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Betuseba n'addamu nti: “Mukama wange, nze omuzaana wo, wandayirira Mukama, Katonda wo, nti mutabani wange Solomooni ye alikusikira, era ye alituula ku ntebe yo ey'obwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Mukama wange, walayira Mukama Katonda wo eri omuzaana wo nti Sulemaani mutabani wo ye alirya obwakabaka: oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange.