1 Kings 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atambidde ente, obuyana obusavuwaze n'endiga nkumu, ayise batabani ba kabaka, Abiyatari kabona ne Yowabu omuduumizi w'eggye; naye Solomoni omuweereza wo tamuyise.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna, ne Abiyasaali kabona, ne Yowaabu omukulu w’eggye, naye Sulemaani omuddu wo tamuyise.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu omukulu w'eggye: naye Sulemaani omuddu wo tamuyise.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era awaddeyo ekitambiro eky'ente n'ennyana ezassava n'endiga mu bungi, era ayise abaana bo bonna, ne Abiyataari kabona, ne Yowaabu omukulu w'eggye, wabula Solomooni omuweereza wo, ye tamuyise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna ne Abiyasaali kabona ne Yowaabu omukulu w'eggye: naye Sulemaani omuddu wo tamuyise.