1 Kings 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza be kwe kumugamba nti: “Kabaka ka bamunoonyezeeyo akawala embeerera, kamuweerezenga, kamujjanjabenga; kajjanga kwebaka mu mikono gye, mukama waffe kabaka afune ku kabugumu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abaweereza be ne bamuwa ekirowoozo nti, “Banoonyeze mukama waffe kabaka, omuwala embeerera ayimirirenga mu maaso ga kabaka era amuweerezenga; era agalamirenga mu kifuba kya mukama waffe kabaka amubugumyenga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaddu be kyebaava bamugamba nti Mukama wange kabaka katukunoonyeze omuwala omuto embeerera ayimirirenga mu maaso go akuweereze; era agalamirenga mu kifuba kyo, mukama wange kabaka obugumenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaweereza be, kyebaava bamugamba nti: “Mukama waffe, ka tukunoonyezeeyo omuwala omuto embeerera, abeerenga naawe, akulabirirenga, era yeebakenga wamu naawe, akubugumye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu be kyebaava bamugamba nti Banoonyeze mukama wange kabaka omuwala omuto atamanyi musajja: ayimirirenga mu maaso ga kabaka, amuweereze; era agalamirenga mu kifuba kyo, mukama wange kabaka afune olubugumu.