1 Kings 1:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babuulira kabaka nti: “Natani omulanzi ali wano.” Bwe yayingira ewa kabaka, n'agwa ku ttaka nga yeevuunise ku maaso ge, n'amuvunnamira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babuulira kabaka nti, “Nasani nnabbi ali wano.” Awo n’ayingira mu maaso ga kabaka, era n’avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babuulira kabaka nti Laba, Nasani nnabbi azze. Awo bwe yayingira mu maaso ga kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bategeeza kabaka nti: “Natani omulanzi wuuno azze.” Natani n'ayingira awali kabaka, n'avuunama mu maaso ga kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babuulira kabaka nti Laba, Nasani nnabbi. Awo bwe yayingira mu maaso ga kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.