1 Kings 1:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Natani n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, ggwe olangiridde nti: ‘Adoniya anzirire ku bwakabaka, yennyini atuule ku nnamulondo yange?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nasani n’ayogera nti, “Mukama wange, wagamba nti Adoniya y’alirya obwakabaka oluvannyuma lwo, era y’alituula ku ntebe yo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nasani n'abuuza kabaka nti Ayi Mukama wange, kabaka, ggwe wagamba nti Adoniya yalirya obwakabaka ng'ovuddewo era nga yalituula ku ntebe yo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Natani n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, walangirira nti Adoniya ye alikusikira, era nti ye alituula ku ntebe yo ey'obwakabaka?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nasani n'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, wayogera nti Adoniya ye alirya obwakabaka oluvannyuma lwange, era ye alituula ku ntebe yange?