1 Kings 1:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga olwa leero yaserengese, n'atambira bingi: ente, obuyana obusavuwaze n'endiga; n'ayita batabani ba kabaka bonna n'abakulu b'eggye, ne Abiyatari kabona; kati bali mu kulya na kunywa mu maaso ge nga bwe bagamba nti: ‘Kabaka Adoniya awangaale!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwa leero aserengese, era asse ente, n’ebyassava n’endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n’abakulu b’eggye ne Abiyasaali kabona. Mu kiseera kino balya era banywera wamu naye, nga boogera nti, ‘Kabaka Adoniya awangaale!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga aserengese leero, era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n'abakulu b'eggye ne Abiyasaali kabona; era, laba, balya era banywera mu maaso ge, nga boogera nti Kabaka Adoniya awangaale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwaleero luno lwennyini, agenze n'awaayo ekitambiro eky'ente n'ennyana ezassava, n'endiga mu bungi, era ayise abaana bo bonna, ayi kabaka, n'abakulu mu ggye, ne Abiyataari kabona. Bali eri balya era banywera mu maaso ge, nga bagamba nti: ‘Kabaka Adoniya, wangaala!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga aserengese leero, era asse ente n'ebya ssava n'endiga nnyingi, era ayise abaana ba kabaka bonna n'abakulu b'eggye ne Abisaayi kabona; era, laba, balya era banywera mu maaso ge, nga boogera nti kabaka Adoniya abeere omulamu.