1 Kings 1:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati kino mukama wange kabaka ky'akoze nga tategeezezza ku baweereza be ow'okutuula ku nnamulondo ya mukama wange kabaka amuddirire?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino mukama wange kabaka, okikoze n’ototegeeza baweereza bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka ey’obwakabaka, oluvannyuma lwe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama wange kabaka gw'okoze ekigambo ekyo nga totegeezezza na ku baddu bo alikusikira ng'ovuddewo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama wange kabaka, ggwe wakoze ekyo, nga tobuuliddeeko baweereza bo kubamanyisa alikusikira ku ntebe yo ey'obwakabaka ng'ovuddewo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo ekyo kikoleddwa mukama wange kabaka, n'ototegeeza baddu bo alituula ku ntebe ya mukama wange kabaka oluvannyuma lwe?