1 Kings 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne banoonya akawala akabalagavu mu Yisirayeli mwonna, ne bazuula Abisagi ow'e Sunemu, ne bakaleeta ewa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne banoonya okubuna ensalo zonna eza Isirayiri omuwala omulungi, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne banoonya mu nsi yonna eya Isiraeri, ne bazuula Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne banoonya mu Yisirayeli yonna omuwala omulungi mu ndabika ye, era mu Sunemu ne bazuulayo omuwala, erinnya lye Abisaagi, ne bamuleeta eri kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne banoonya omuwala omulungi okubuna ensalo zonna eza Isiraeri, ne balaba Abisaagi Omusunammu, ne bamuleetera kabaka.